Ecclesiastes 6

Obutaliimu bw’Obugagga n’Ettiibwatiibwa

1Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi w’enjuba era kibuutikidde abantu. 2 aKatonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!

3 bOmuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala. 4Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya. 5Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo: 6omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?

7 cBuli muntu ateganira mumwa gwe,
naye tasobola kukkuta by’alina.
8 dKale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru?
Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala,
agasibwa ki?
9 eAmaaso kye galaba
kisinga olufulube lw’ebirowoozo.
Era na kino nakyo butaliimu,
na kugoberera mpewo.

10Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda,
n’omuntu kyali kyamanyibwa,
tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi,
n’amusobola.
11Ebigambo gye bikoma obungi,
gye bikoma n’obutabaamu makulu;
kale ekyo kigasa kitya omuntu?
12 fKale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?

Copyright information for LugEEEE